Amawulire

Ongwen emisango gyékiyekera gimuse muvvi

Ongwen emisango gyékiyekera gimuse muvvi

Ivan Ssenabulya

February 4th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Kkooti yensi yonna ewozesa bakali ntalo eya ICC esingisiza eyali omudumizi wa abayekera ba LRA Dominic Ongwen emisango 61 ku 70 egibadde gimuvunanwa.

Emisango egimusse muvvi kuliko egyentalo, okutyoboola eddembe lyobuntu gyeyakola nga bali mu kambi mu bitundu okuli Lukodi, Pajule, Idek ne Poka wakati wa October 2003 me June 2004 mu mambuka geggwanga.

Ongwen omusango gwe gubaddemu abalamuzi 3 nga bakulembedwamu Bertram Schmitt, ono nagumusingisa okusinzira ku bujulizi obumulumika

Abalamuzi besigamye ku bujjulizi bwa bantu abasoba mu 100, abajja bogerako ne kooti okuva nga 6th December 2016.

Kkooti egaaye okuwulira ebigambibwa nti Ongwen naye yalimbibwa limbibwa ssabayekera Joseph Kony’s eyamuwamba nga muto namuyingiza mu bikolwa bino

Ongwen, yasoose ku ba memba be ggye lya LRA okulabikako eri kooti ye nsi yonna okwanukula ku bikolobero bye bakola mu lutalo lwe kiyekera.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *