Amawulire

Omwana abuze e Mulago

Ali Mivule

September 4th, 2013

No comments

mulago kids

Ab’eddwaliro lye Mulago batandise okunonyereza ku mwana ow’omwezi ogumu eyabbiddwa

Omwana ono ow’obulenzi yabuze olunaku lwajjo.

Akulira poliisi ye Mulago, Hashim Kasinga agamba nti omwana ono yabuze ku ssaawa bbiri ez’oku makya olunaku lwajjo  kyokka nga nyina yawaabye ku ssaawa kkumi ez’olweggulo

Omwana ono wa Aisha Nambejja owe Kamwokya nga yabadde amuleese kumugema

Omukyala ono yeemuluddeko katono n’agenda mu kabuyonjo era nga yagenze okudda ng’omwana abuze

Omukyala ono akawungeezi kajjo waliwo omwana gwebamuwadde kyokka okumwekebejja nga ssi wuwe

Bino bizze ng’amawulire g’okubba abaana e Mulago gazzeemu okukyaaka.