Amawulire

Omwaka gwebyensimbi omugya gutandise

Omwaka gwebyensimbi omugya gutandise

Ivan Ssenabulya

July 1st, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Olwaleero ennaku zomwezi 1 July, kati Uganda etandise omwaka gwebyensimbi omugya 2021/22 nga muno gavumenti erubiridde okukola okuzza ebyensfuna engulu ebyalu byasanyalala olwa ssenyiga omukambwe.

Ebyenfuna byegwanga biri ku 4.3% wabula gavumenti egamba nti erubiridde okubisitula okudda ku bitundu wakati 6 ne 7% mu kiseera ekijja.

Wabula omwaka gwebyensimbi guno gwajiddemu omusolo omugya ku bintu ebyenjawulo, nga gwayisibwa palamenti gyebuvuddeko.

Kuno kuliko omusolo gwa yintaneti, omuolo ku bbidduka, nebyokunywa oguli mwenge.

Kati abakozesa yintaneti baakusasula omusolo gwa 12% ku buli data gwebagula, nga gwegwasikidde ogwa Over the Top oba (OTT) ogwe nnusu 200 eza buli lunnaku ezibaddenga zisasulwa abagenda ku mikutu muyunga bantu oba Social Media.

Abebidduka baakusasula omusolo gwa nnusu 100 ekyeyongedde ku buli liita yamafuta aga petuloori ne dizelo.

Omusolo omulala ba nananyini mayumba oba ba Landlord baakusasaula 25% ku buli kizimbe kyebasolooza.

Mungeri yeemu, olunnaku olwaleero, ab’emikutu gyamasimu olwaleero batandise okuteeka mu nkola omuolo omuppya ku yintaneeti ogwebitundu 12% ku buli data agaulibwa.

Palamenti mu mwaka gwebyensimbi oguwedde yayisa enongosereza mu mateeka ku musolo ogwenjawulo, nga mu Excise Duty Amendment Bill, 2021 bayisa omusolo ogwebitundu 12% ku data okusikira ogwa OTT.

Ekitongole ekiwooza kyomusolo ekya Uganda Revenue Authority (URA) babadde tebibatambulira bulungi, basobodde okukunganya obuwumbi 49 nekitundu okuva mu OTT songa baali balubiridde okukungaanya obuwmbi 284 mu mwaka gwebyensimbi 2018/19.

Akulira ebyamwulire mu Roke Telkom nga ye Michael Mukasa agambye nti kino kigenda kukola ku data yekka agulibwa okuva ku makampuni agomunda mu gwanga.

Kino agambye nti kitegeeza nti ebbeyi ya data egenda kulinnya, banna-Uganda kwebamugulira.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *