Amawulire

Omuzimbi awerenemba nagwa kubba TV ne Lediyo

Omuzimbi awerenemba nagwa kubba TV ne Lediyo

Ivan Ssenabulya

February 13th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah,

Omuzimbi asindikiddwa mu kkomera e Luzira lwakubba TV ne radio jeyabadde agenze okudabiriza.

Ssekubulwa Ronald asimbiddwa mu kkooti ya City hall mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka Valerian Tuhimbise amusomedde omusango gw’obubbi nagwegaana.

Wabula oluvanyuma lw’okwegaana omusango omulamuzi amusindiise mu kkomera lya government e Kitalya ajira yebakayo okutuusa February 25th 2021.

Kigambibwa omusango yaguzza nga January 17th 2021 mu Kikulu zone e Kisaasi.

Kkooti ekitegedeko nti ebintu ebyabibwa byali bibalirirwamu ensimbi za Uganda emitwalo 70 nga zaali za Ibrahim Nagwere.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *