Amawulire

Omuyizi wa UCU eyawambye bamukutte

Omuyizi wa UCU eyawambye bamukutte

Ivan Ssenabulya

February 15th, 2020

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Poliisi eriko omuyizi we ttendekero lya Uganda Christian University, ku bigambibwa nti yabadde yewambye.

Okusinziira ku mumyuka womwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Luke Owoyesigyire, Herbert Akampamya owemyaka 24 muyizi mu mwaka ogusooka e Mukono.

Ono bamukwatidde ku Sydney Apartments mu munisipaali ye Mukono olwokuwa amawulire agobulimba nga bweyamabiddwa, wabula ekitabadde kituufu.

Owoyesiguire agambye bazadde be bebakubidde poliisi, ngomwana waabwe bweyawambiddwa nga babadde bamusabyeko omusingo gwa bukadde 22 okusobola okumuyimbula.

Okunonyereza bwekwakoleddwa kyazuuse nti yebadde yewambye, asobola okufuna ssente zino.

Ono kati agaliddwa ku poliisi ya Jinja Road ku misango gyokuwa poliisi amawulire agobulimba.