Amawulire

Omuyindi agenda kuddamu okubagoba abe Kasanda

Omuyindi agenda kuddamu okubagoba abe Kasanda

Ivan Ssenabulya

September 9th, 2019

No comments

Bya Magembe Sabiiti

Amaka agasoba mu 400 agasengulwa ku ttaka lyekibira kya gavumenti ekye Luwunga, mu disitulikiti ye Kiboga mwaka gwa 2014 ekyavirako gavumenti okubagulira ettaka ku kyalo Bukoba mu gombolola ye Nalutuntu mu disitulikiti ye Kassanda, nate golekedde okuddamu okusengulwa.

Kino kidiridde enkayana ze ttaka, nga kigambibw anti ate ettaka kwebasenga lya musiga nsimbi Abid Allam.

Ettaka elyogerwako lisangibwaku ku block 308 plot 122 nga liwerako obunene bwa yiika 780.

Oluvanyuma lwa Sam Bitangaro okuguza gavumenti ettaka lino, abatuuze babadde bakasenga wano emyaka 5 emabagega, ate emitima gyazeemu okubewanika.

Eyali ssentebe wekibiina kya Kiboga Twegatte Cooperative Society Limited, eyakulemberamu okugula ettaka lino okuva ku Sam Bitangalo nga ye Kayinda Uziel aliko byanyonyodde ku nsonga eno.

Yye omubaka we kitundu kino ekya Kassanda South Simewo Nsubuga ategezezza nga gavumenti bwesanye okugulira abantu ettaka n’okukoma ku bamusiga nsimbi okugobaganya nga abantu ku ttaka.