Amawulire

Omuwendo gwábalwadde ba covid gutuuse ku balwadde 1,140

Omuwendo gwábalwadde ba covid gutuuse ku balwadde 1,140

Ivan Ssenabulya

July 29th, 2020

No comments

Bya Shamim Nateebwa, Minisitule evunanyizibwa ku byóbulamu mu ggwanga erangiridde abantu 5 okuba n’ekirwadde kya covid-19 , omuwendo gw’abakirina ne kutuuka ku balwadde 1,140.

Bano bavudde mu sampo 2600 ezekebejebwa olunaku lweggulo.

Okusinzira kwakulira ebyóbujanjabi mu minisitule eno Dr. Henry Mwebesa, bana ku balwadde abapya bavudde mu Kampala, ate omulala yaliko na balina ekirwadde.

Waliwo nabagwira 8 abagoba ba tuleela abasangibwa ne kirwadde ku bitundu ebyokunsalo wabula tebakkirizidwa kuyingira ggwanga.

Minisitule eyongedde okukubira bannauganda omulanga okubatemyako singa baba balina omuntu gwe bekengedde okuba ne kirwadde nga bakuba ku namba etali yakusasulira  0800-100-066.