Amawulire
Omuwendo gwabakafa e Buduuda guweze 46
Bya Damalie Mukhaye
Minister owebibamba nebigwa tebiraze Musa Echweru ategezezza nti omuwendo gwabantu abakafiirwa mu kubumbulukuka kwe ttaka, omwabadde namataba e Buduuda gulinnye okutuuka ku bantu kati 46.
Amazzi gayigukulula ettaka negasenda ebyalo nebyalo, mu gombolola ye Bukalatsi, abantu nebafa nabawerako nebasigala nga tebalina waakusula.
Bwabadde akwasibwa obuyambi obwavudde mu gavumenti ya China wali ku wofiisi yomukulmbeze we gwanga, Echweru agambye nti olunnaku lwe ggulo, baliko emirambo emiralala gyebazudde.
Bbo abantu abalala absimattuka kati bali mu mawaliro e Mbale ne Bududa.