Amawulire

Omuwala yeetuze lwa Kitaawe kumulemesa mulenzi

Omuwala yeetuze lwa Kitaawe kumulemesa mulenzi

Ivan Ssenabulya

July 14th, 2021

No comments

Bya Mbogo Sadat,

Poliisi y’e Kayabwe Town Council mu district y’e Mpigi etandise okunonyereza ku muwala ow’emyaka 16 eyeewadde obutwa n’afa.

Kigambibwa nti Shamsa Nalwadda yeeyeewadde obutwa oluvanyuma lwa kitaawe Ssentebe wa LC2 e Kayabwe Isiah Kimbugwe Musese, okumunenyaako okutijja n’omuvubuka avuga boda ng’abadde takyakola na mirimu ewaka nga babeera ku ssimu kunyumya buli kadde ng’essimu yamuweebwa

Kigambibwa nti kitaawe olwamuyombeseza omuwala n’atya nti bagenda kusiba omulenzi we kwekwewa obutwa neyeggya mu bulamu bw’ensi.

Omulambo poliisi egututte mu ggwanika ly’eddwaliro e Gombe okwekebejjebwa era oluvanyuma guweereddwa abooluganda

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *