Amawulire

Omuwala owémyaka 20 e Nansana yetugidde munju

Omuwala owémyaka 20 e Nansana yetugidde munju

Ivan Ssenabulya

July 7th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abatuuze Ku kyalo Lulagala mu division ye Gombe mu Nansana municipality bagudde kukikangabwa bwebagudde kumwana owobuwala nga yetugidde munyumba mwabadde asula.

Omuwala ategerekese nga Nayiga Maria nga wamyaka 20 ngabadde akola bulimu obutono tono obumubezaawo.

Okusinziira ku mukyaala Naggitta Marry agambye nti omuwala ono abadde asula munyumba yekka nga nyina yali yamulekamu nagenda mukyaalo wabula nga abadde ategezanyo mukwanogye nga bwakoye okusula obwomu munyumba nga basubira nti ye nsonga eyamwetisiza.

Ye Ssentebe we kyalo kino Musoke Fred avumiridde ekikolwa kyokwetuga nasaba abantu okweyambisa abakulembeze nga balina ebibasomooza.

Poliisi ye Jagala ezze neyekebejja omulambo era nekiriza abatuuze okuziika.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *