Amawulire

Omuwala bamukutte n’omulenzi mu nnyumba neyetuga

Omuwala bamukutte n’omulenzi mu nnyumba neyetuga

Ivan Ssenabulya

November 8th, 2018

No comments

Bya Joseph Kato

Poliisi egamba nti etandise okunonyereza kungeri omuwala abadde yakamala S4 gyeyetugidde mu nnyumba.

Omusajja Kiraka Mugisha omutuuze we Kasenge, mu Kyengera gakaaba gakomba, oluvanyuma lwa muwala we owemyaka 16 gweyakutte nomulenzi nga basinda omukwano mu kisenge kye, ate okwetuga.

Bino byabaddewo ku Lwokubiri, wabula yakutte muwala we nomulenzi Kelvin Yunus Kaddu owemyaka 18 nabatwala ku poliisi ye Nsangi, naye bwebayimbudde omuwala nakomawo ewaka, yasazeewo kwejja mu budde.

Agamba nti mu bzibu ebingi yasazeewo asule ku dduuka gyabadde akolera, naye kyamubuseeko, bweyasanze omwana ngalengejjera ku mugwa mu kisenge.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Luke Owoyesigyire, akaksizza ensonga zino, era agambye nti okunonyereza kugenda mu maaso.

Omuwala abadde yakamala ebibuuzo ebya S4, wiiki ewedde.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *