Amawulire

Omuwagizi wa NRM bamukomeredde emisumaali

Omuwagizi wa NRM bamukomeredde emisumaali

Ivan Ssenabulya

August 29th, 2019

No comments

Bya Juliet Nalwoga

Poliisi ye Wandegeya etandise okunonyereza ttemu eryakoleddwa ku musajja owemyaka 21 agambibwa okubeera omuwagizi wekibiina kya NRM, eyalumbiddwa abantu abatanaba kutegereka, wali ku Kalerwe nebamukuba emisumaali mu mikono.

Omwogezi wa poliiis mu Kampala nemiriraano Patrick Onyango agambye nti Kasumba Baker mutuuze we Avisi-Kawempe, nga bamukozeeko kino nga bamulanga okwambala ebya kyenvu ebyekibiina kya NRM.

Agambye nti ono waliwo abakyala 2 abamutasiizza bwebakubye enduulu, nga bayita poliisi eyokumpi ebayambe.

Onyago agambye nti ebikolwa bino tebikirizika omuntu okwagala okutta banaabwe olwenjawukana mu byobufuzi.

Omusajja ono kati ali mu ddwaliro e Mulago gyafunira obujanjabi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *