Amawulire

Omuvunanwa mugwa Kirumira bamuzizaayo ku alimanda

Omuvunanwa mugwa Kirumira bamuzizaayo ku alimanda

Ivan Ssenabulya

October 19th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah

Poliisi egamba nti ekyanonyereza, ku muvunanwa omukulu mu musango gwobutemu obwakolebwa ku eyali omuddumizi wa poliisi e Buyende Muhammad Kirumira ne Stellah Nalinya Mbabazi.

Omuwaabi wa gavumeni mu musango guno, Ameria Kamusha kino akitegezezza omulamuzi wa kooti ento e Wakiso Martin Kirya.

Abubaker Kalungi  owemyaka 47, omubazzi mutuuze mu Mulimira zone Kibutika Ndejje mu gombolola ya Makindye Sabagabo olwaleero alabiseeko mu maaso gomulamuzi okumanya wa okunonyererza wekutuuse mu musango gwe.

Oludda oluwaabi lugamba nti omuvunanwa nga September 8th  2018 ku ssaawa nga 2 ezakakwungeezo e Bulenga, Kalungi nabalala bakyaygibwa bakuba Kirumira amasaso ne Nalinnya agabatta.

Kati omulamuzi omusango agwongezaayo okutukira ddala nga October 31st poliisi lwesubirwa okuba ngemalirizza okunoyereza kwayo.