Amawulire

Omuvunanwa mu musango gwa Magara bamukutte

Omuvunanwa mu musango gwa Magara bamukutte

Ivan Ssenabulya

May 16th, 2019

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Patrick Kasaija ng’ono ye muvunanwa mu musango gw’obutemu obwakolebwa ku Susan Magara olunnaku lwe ggulo, yaleteddwa okumujja mu gwanga lya South Africa nga kati agaliddwa, ku kitebbe kya SID e Kireka.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti baamukirizza, okwogera ne bannamateeka be, nga kati entakateeka zigenda mu maaso okumubuuza akana nakataano ku butemu obwakolebwa ku mugenzi.

Agambye nti file ye era egenda kuwerezebwa ewa ssabawaabi wa gavumenti, okujitunulamu okuwabula.

Kasaija amanyiddwa nga Pato yakwatibwa poliisi ya Interpol mu kibuga Pretoria, ngavunanibwa okuwamba omugenzi Susan Magara nasaba omusingo naweebwa onukadde 700 ateera oluvanyuma namutta.

Magara yawambibwa nga 7 mu February wa 2018 ng’oluvanyuma yatibbwa, mu wiiki 3.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *