Amawulire

Omuvubuka yettuze lwa kitaawe ku muwa mmere ntono

Omuvubuka yettuze lwa kitaawe ku muwa mmere ntono

Ivan Ssenabulya

July 31st, 2020

No comments

Bya Ivan Ssenabulya, Omuvubuka owe myaka 23 yettuze oluvanyuma lw’okufuna obutakanya ne kitaawe.

Bino bibadde ku kyalo Nabeki village mugombolola ye Mukoto mu disitulikiti eye Namisindwa

Omugenzi ategerekese nga Watsala Wilson era kigambibwa nti okwetta yasoose kukongoza mubejja Namalwa bweyakomyewo eka nayombesa kitaawe okumuwa emmere entono ekimunyiziza ne yettuga.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu mu bitundu ebya

Elgon Rogers Taitika akakasiza amawulire gano era nategeeza nti okunonyereza kutandise