Amawulire

Omuvubuka afumise munne n’amutta

Omuvubuka afumise munne n’amutta

Ivan Ssenabulya

September 7th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Poliisi mu disitulikiti y’e Rukungiri etandise okunonyereza ku butemu obwakolebwa ku muvubuka.

Omugenzi ategerekese nga Dancun Muhumuza owemyaka 24 ngabadde mulimi ku kyalo Nyakagyera village,mu gombolola ye Nyarushanje e Rukungiri.

Kigambibwa nti omusajja ategerekese nga Alex Muhwezi owemyaka 17 nga mutuuze w’e Kinanira mugombolola y’e Nyarushanje aliko ekippakasi kyeyafunye kwekuyita munne Muhumuza bakikole babiri noluvanyuma bagabane ensimbi

Bano olwamaze okulima basasudwa omutwalo gumu wabula Muhwezi n’asasula Muhumuza shs1000 ekyabavirideko obutakanya

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu by’eKigezi Elly Maate agamba nti awo wewavudde obutakanya ne kyadiridde Muhwezi kukwata kambe nafumita Muhumuza era nafiirawo.

Maate agamba nti oluvanyuma muhwezi yetute ku poliisi era ne bamugalira ngokunonyereza bwekugenda mu maaso.

Omulambo gwomugenzi gutwaliddwa mu ddwaliro ogwongera okwekebejebwa.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *