Amawulire

Omutuuze awaabidde egombolola lwabutabeera na kabuyonjo

Omutuuze awaabidde egombolola lwabutabeera na kabuyonjo

Ivan Ssenabulya

March 28th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Waliwo omutuuze mu disitulikiti ye Budaka, awawabidd obukulembeze bwe gombolola olwokumala emyaka 15 nga tebalina kabuyonjo.

Namusyo Alamanzan Muwereze, omutuuze ku kyalo Bulumbi agambye nti mulirwana nekitebbe kye gombolola ye Budaka, wabula tebalina kabuyonjo nga kiteeka obulamu bwabwe mu kabi okukwatibwa ebirwadde.

Buno agambye nti bulagajjavu bwabakulembeze ku gombolola, kubanga basolooza omusolo naye tebafudeeyo okuzimba kabuyonjo.

Ono yayise mu bannamateeka be aba Kaggwa and Partners Co Advocates, okuddukira mu kooti, ngyagala kooti ekake ego,mbolola ye Budaka okusima kabuyonjo.

Wabula ssentebbe we gombolola eno Wilson Waira, agambye nti kino kivudde ku kuba nga bakasenga mu kifo ekippya nayenga gyebaali waliwyo kabuyonjo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *