Amawulire

Bajjo w’akuvunanibwa kulya mu nsi lukwe

Bajjo w’akuvunanibwa kulya mu nsi lukwe

Ivan Ssenabulya

June 17th, 2019

No comments

Bya Juliet Nalwoga ne Prossy Kisakye, Poliisi etegezezza ng’omutegesi w’ebivvulu Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo, essaawa yonna bwe bagenda okumutwala mu kkooti avunaanibwa ku misango gy’okukuma omuliro mu bantu n’okulya munsi olukwe.

Omwogezi wa poliisi mu gwanga Fred Ennaga agambye, nti ono fayilo ye baajitutte ewa ssabawaabi wa gavumenti, okujitunulamu awabule.

Bajjo yakwatidwa okuva ku Centenery park mu Kampala, ku Lw’omukaaga, nga kati akuumibwa ku kitebbe kya SIU, ku by’ekuusa ku katambi keyakola ng’alalika nga bwe balina entegeka okujjako Museveni ng’okulonda kwa 2021 tekunatuka.

Kati Enanga agambye nti etteeka likuuma ekitiibwa kyobwa presidenti, nga tebayinza kukiriza bikolwa bino.

Poliisi era egamba nti omuntu yenna anagezako okutambuza akatambi kano ku social media wakuvunaanibwa.

Mungeri yemu Poliisi yeremye okuwa okweyimirirwa eri omutegesi w’ebivvulu Andrew Mukasa amanyidwa nga Bajjo kunsonga ezitategerekesse.

Mu kwogerako eri munnamateeka w’e Erias Lukwago  ategezezza nga bwe batategedde asonga zimisizza muntu we  kweyimirwa  wabula nategeeza nti olunaku olwenkya wa kutwalibwa mu kkooti ku misango gyokulya munsi olukwe nokukuuma omuliro mu bantu.

 

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *