Amawulire

Omutanda Wa’kulabikako eri Obuganda ku Bbalaza

Ivan Ssenabulya

August 10th, 2017

No comments

MENGO

Bya Shamim Nateebwa

Ssabasajja Kabaka Empologoma ya Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11 kikakasidwa nga bwagenda okulabikako eri obuganda, bwanaaba aggulawo olukiko lwa Buganda olwomulundi ogwa 25 ku balaza ya Ssabiiiti eggya.

Kino kikakasiddwa omukubiriza wolukiiko lwa Buganda Owek. Nelson Kawalya, ngono ategeezeza nti olukiiko luno lw’a nkizo nnyo kubanga waliwo abantu ssabasajja bagenda okuggonnomolako obwami, songa nababaka be ebweru we gwanga bakweyanza obukulu.

Owekitiibwa Kawalya agambye nti  mu myaka 25 Ssabasajja gyeyakamala ku Namulondo, obwavu mu bavubuuka, endwadde n’okukozesa abantu obuddu byebimu ku kusomozebwa okubaddewo waddenga wabadewo ebitukidwako okuli abavubuuka okwagala obwakabaka nokuzzaawo ekitiibwa ne nnono.