Amawulire

Omusumba Jjumba akuutidde abakkiriza okusigala nga banywevu mu kukkiriza

Omusumba Jjumba akuutidde abakkiriza okusigala nga banywevu mu kukkiriza

Ivan Ssenabulya

June 3rd, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Omusumba wessaza lye Masaka Severus Jjumba asabye abakkiriza okusigala nga banywevu wakati mu kusomoozebwa okwenjawulo kwe bayitamu.

Bino abyogeredde ku kiggwa kya bajjulizi e Namugongo mu kujjukira abajjulizi ba Uganda nagamba nti kyetaagisa abakkiriza okwegayirira katonda okuyita mu bajjulizi abavunuse okusomoozebwa.

Essaza lya masaka lye likulembedemu emikolo gyomulundi guno.

Mungeri yemu omubaka wa papa mu Uganda, Bianco Luigi asabidde bonna abafiirwako ababwe mu muyaga gwe kirwadde kya ssenyiga omukambwe era nasaba abakkiriza okusigala nga basaba katonda akyuse embeera eno munsi yonna.

Alaze obwenyamivu olwomuwendo gwa bantu abangi okwetoloola ensi yonna abaze bafa ekirwadde kino nasaba katonda okusaasira ensi.

Bianco okwogera bino nga minisitule eye byobulamu leero elangiridde abantu abasoba mu 1000 okuba nga bakwatibwa ekirwadde kya covid-19, kati abakakwatibwa ekirwadde kino baweze emitwalo 48676 ate abakafa bali 364.

Ate munsi yonna abantu abasoba mu bukadde 172 bebakakwatibwa ekirwadde kino songa abasoba mu bukadde 3 mwemitwalo 70 bebakakirira ekaganga olwekirwadde kino.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *