Amawulire

Omusumba bamukutte nabagoberezi 30

Ivan Ssenabulya

March 25th, 2020

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi e Kajjansi ekutte omusumba nabagoberezi 30 olwokukungaana okusaba, songa kwayimiriziddwa.

Omukwate ye pastor Rashid Mutebi owe kkanisa ya Blessed Feelings Church International e Gobe.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Patrick Onyago agambye nti bano babasanze basaba, era bagenda kuvunanibwa.