Amawulire

Omusujja gw’omu lubuto gweyongedde e Kasese

Ali Mivule

November 16th, 2015

No comments

Abantu abalwala Omusujja gwomubyenda ogwa Typhoid  beyongedde mu bitundu bye Kasese nga n’enkuba bwekyagenda mu maaso n’okufudemba.

 

Raphael Baluku omu ku b’ebyobulamu mu kitundu kino kino agamba kivudde ku bantu kwongera kuyiwa bikyaafu mu mazzi wamu n’amataba .

 

Omwogezi w’eddwaliro lya gavumenti erye   Bwera ono nga ye Pedson Buthalha akakasizza nga abalala bwebakwatiddwa typhoid wabula nga omuwendi tegunamamyika.

 

Bino webijidde nga omuwandiisi wenkalakalira Dr.Asuman Lukwago kyajje alabule nga endwadde nga Typhoid  nendala ezija ku mazzi amakyafu bwezigenda okweyongera mu budde buno obwenkuba.