Amawulire

Omusomo gw’okujjukira Dr. Obote gwa leero

Omusomo gw’okujjukira Dr. Obote gwa leero

Ivan Ssenabulya

October 17th, 2019

No comments

Bya Prosy Kisakye

Ab’ekibiina kya UPC olwaleero bategese omusomo, gwokujukira eyaliko omukulembeze we gwanga era presidenti wekibiina kino Dr. Apollo Milton Obote.

Obote ajjukirwa nnyo nga taata we gwanga, mu biseera byokulwanirira obwetwaze, mu 1962.

Akulira ebyamwulire ku kitebbe kyekibiina Faizo Muzeyi, agambye nti mu musomo guno balubiridde okujukira ebintu ebirungi omugenzi byeyakolera egwanga.

Agambye nti gavana we ssaza lye Kisumu mu gwanga lya Kenya, Prof. Peter Anyang yasubirwa ngomugenyi omukulu.

Obote yakulembera Uganda okuva aku mefuga, oluvanayuma Idi Amin. Nasuula gavumenti ye ate nakaomawo mu 1980, ate nawangangukira mu gwanga lya Zambia Museveni ngamaze okuvunika gavumenti ye.