Amawulire

Omusomesa bamukutte lw’akusobya kumuyizi

Omusomesa bamukutte lw’akusobya kumuyizi

Ivan Ssenabulya

August 23rd, 2019

No comments

Bya Barabra Nalweyiso

Poliisi mu district ye Mityana eriko omusomesa wa myaka 30 gwegalidde olwokusobya ku mwana ow’emyaka 10.

Omukwate musomesa ku ssomero lya Maanyi Parents school erisangibwa mu gombolola ye Maanyi.

Okusinziira ku Sylvia Akleo maama womwana nono, omwana we asomera ku ssomero lino wabula yapangisa omusomesa ono akoachinge.

Omwana abadde amusomeseza ku dduuka lye, nga kigambibwa nti yamulagidde ayingire munda mu kisenge akole ekigezo gyeyamusoberezaako namuwa 5000 namulagira obutabaako gwabuliira.

Kati omwogezi wa poliis mu bitundu bya Wamala Norbert Ochom akaksizza okukwatibw akwomusomesa, era agambye nti okunonyereza kugenda mu maaso.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *