Amawulire

Omusomesa bamukutte lwakubba ssente zabasomesa

Omusomesa bamukutte lwakubba ssente zabasomesa

Ivan Ssenabulya

September 27th, 2019

No comments

Bya Mlaikh Fahad

Poliisi Kyotera eriko omukulu we ssomero gwegalidde, nga kigambibwa nti abaddenga ababba ssente zabasomesa okuva ku akawunta zaabwe.

Alex Bashijja nga ye mukulu we ssomero kya Lwenkakala P/S mu gombolola ye Byakabanda akwatiddwa nga kigambibwa nti yajingirira omukono gwomuysomesa we Murisheed Luyima nagenda najjayo ssente ze mu bbanka.

Omwogezi wa poliisi mu district ezikola obugazi bwe Masaka Paul Kangave akaksizza okukwatibwa kwomusomesa ono.

Ono akwatiddwa ne Kiwanuka Godfrey bwebagambibwa nti bwebekobaana okuzza omusango guno.

Kangave agambye nti banonbagenda kutwalibwa mu kooti, nga nokunonyereza kugenda mu maaso okuzuula abalala bwebabadde bakolagana.