Amawulire

Omusomesa agudde mu mata naafa

Omusomesa agudde mu mata naafa

Ivan Ssenabulya

October 21st, 2019

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Poliisi mu district ye Kisoro etandise okunonyereza ku nfa y’omusomesa mu itundu ekyo, nga kigambibwa nti yadudde mu mata agatokota nafirawo.

Omugenzi ye Edison Bwiringiro omutuuze ku kyalo Kibumba mu gombolola ye Murora, ngabadde musomesa ku ssomero lya Katojo Modern preparatory school.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Kigezi Elly Maate agambye nti ono mu butanwa yagudde mu mata, agabadde gafumbibwa mu kabuga ke Katojo.

Agambye nti batandise okunonyereza okwongera okuzuula ekituufu ekyatuseewo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *