Amawulire

Omusolo ku Motoka gugiddwako guzze ku Mafuta

Omusolo ku Motoka gugiddwako guzze ku Mafuta

Ivan Ssenabulya

April 23rd, 2021

No comments

Bya Damali Mukhaye

Minisitule evunanyizibwa ku byensimbi egyewo omusolo gwe badde yatadde ku motoka ogwe mitwalo 20 kati zitereddwa ku mafuta

Bino byogeddwa minisita omubeezi avunanyizibwa kukutekeratekera eggwanga David Bahati, bwabadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku byensimbi

Bwabadde ayanjula ennongosereza empya mu bbago lye tteeka erya Excise Duty Amendment Bill 2021, Bahati agambye nti oluvanyuma bakizuudde nga kyakubaberera kizibu okusolooza omusolo guno okuva eri bannyini motoka kwekusalawo okuteeka ku mafuta

Ono agamba nti bagenda kwongera omusolo gwa shs 100 ku buli lita ya mafuta wabula agamba nti okulinnya kwe bbeeyi ya mafuta sikwakukosa nyo bantu

Gavt yali eyagala okusolooza omusolo gwa buwumbi 20.5bn okuva ku mitwalo 20 omusolo oguva mu mtoka wabula kino ababaka ba palamenti bakisimbira ekkuuli ne bategeeza nti kyali kyakwongera kutumbula buli bwanguzi mu basirikale ba traffic

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *