Amawulire

Omusinga ayagala bamukirize okuziika maama we

Omusinga ayagala bamukirize okuziika maama we

Ivan Ssenabulya

June 13th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah

Omusinga wa Rwenzuru Charles Wesley Mumbere addukidde mu kooti enkulu e Jinja, bamukirize okuziika nyina omugenzi Christine Biira NyOamukama.

Mumbere okuyita mu banamateeka be aba Kiiza and Mugisha advocates agambye nti, okuva maama we lweyafa tagendangako kumulaba, ngayokedde nokuzikibw ku Lwokusattu lwa wiiki ejja nga June 19th 2019 ku kyalo Nyumirangara mu district ye Kasese.

Omugenzi yafa ku Lwokubiri lwa wiiki eno, mu ddwaliro lya Kirembe, wabula omwogezi wa gavumenti yali agembye nti baakukitunulamu okulaba oba bamukiriza agende, okuziika.

Kinajjukirwa nti kooti yagaana Mumbere, obatalinnya mu bwakabaka bwe, okuva nga November 27th 2016 olwemisango gyobutemu, obutujju nobwa kondo egimuvunanibwa.

Buno bwebumu ku bukwakulizo obwamutekebwako, bweyali ayibulwa ku kaklu.