Amawulire

Omusibe abadde atoloka akubiddwa amasasi naafa

Omusibe abadde atoloka akubiddwa amasasi naafa

Ivan Ssenabulya

February 14th, 2020

No comments

Yahudu Kitunzi, Waliwo omusibe abadde agezaako okutoloka mu komera e Maluku mu disitulikiti ye Mbale District asindiridwa ebyasi nakirira e kaganga.

Omugenzi ategerekese nga Mugoya Gimoyi, ng’atemera mu myaka 20 nga abadde yasibwa ku misango ku gya bubbi n’okusangibwa ne bintu bya gavumenti mungeri emenya amateeka nga abadde wakumala mu kkomera emyaka 4.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu by’e Elgon Robert Tukei agamba nti omugenzi akubiddwa essasi mu kisambi nafiirawo.

Wabula ngokunonyereza kungeri gyeyakubidwamu kutandise.

Yeomwogezi wekitongole kya makomera Frank Baine akakasiza amawulire gano wabula nategeeza nti omusibe afiiridde mu ddwaliro