Amawulire

Omusibe abadde anatera okuteebwa asobezza ku muwala

Omusibe abadde anatera okuteebwa asobezza ku muwala

Ivan Ssenabulya

October 10th, 2019

No comments

Bya Malikh Fahad

Poliisi mu district ye Masaka eriko omusibe gwezeemu nekwata, nga kigambibw anti yasobezza ku mwana omuwala owemyaka 13.

God Kayemba abadde ku kibonerezo kya myaka 2 mu kkomera lye Kyanamukaka, ku misango gyobubbi.

Ono babadde bamukiriza okutambula wabweru we kkomera, kubanga ekibonerzo kye kibadde kinatera okugwako, wabula gyayasanze owama namutunuza mu mbuga za sitaani.

Omwogezi wa poliisi mu district ezawamu e Masaka Paul Kangave agambye nti kati bagenda kumutwala mu ddwaliro okumwekebejja okulaba obanga tebadde na mukenenya.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *