Amawulire

Omusawo owe mukono agobwe

Ali Mivule

October 25th, 2013

No comments

mukono woman

Ensonga z’omusawo eyalagajjalira omukyala w’olubuto n’afa zikutte wansi ne waggulu

Ekimu ku kibina ky’obwanakyewa ekya  Center for Health, Human Rights and Development kyakukwanga akakiiko akakola ku nsonga z’abasawo ekiwandiiko ekiragira omusawo eyaavako omukyala ono okufa agobwe n’ebbaluwa zze zisazibweemu n’ensonga endala.

Akulira ekibiina kino  Moses Mulumba agamba omusawo ono yeeyisa mu ngeri etali yakikugu  era yetaaga okunonyerezebwako akangavvulwe afuuke eky’okulabirako eri abasawo abalala obutalagajalira balwadde.

Florence Nakamya yafa ku lw’omukaaga lwa wiiki ewedde oluvanyuma lw’okufuna obuzibu mu lubuto wabula nga talina nsimbi zakumulongosa olwo natwalibwa mu kalwaliro k’obwananyini aka Doctor Christopher Bingi gyeyafira.

Okuva olwo ono yaggulwako gwakutta Muntu mu butanwa era ali ku alimanda ku meere e Luzira nga okunonyereza bwekukyagenda maaso.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *