Amawulire

Omusawo alangiridde okuvuganya Museveni

Omusawo alangiridde okuvuganya Museveni

Ivan Ssenabulya

May 17th, 2019

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Waliwo munna-Uganda omulala alangiridde entekateeka, nga bwagenda okwesimbawo okuvuganya ku bukulembeze bwe gwanga mu kulonda kwa bonna okwa 2021.

Bwabadde ayogera ne banwmulire Dr. Joel Ssekimpi owemyaka 35 agambye nti ebizbu bya Uganda ssi ye president Museveni, wabula yenskola abantu gyebafugibwamu, nga banansi baalekebwa ebbali. 

Agambye nti agenda kuteeka amaanyi mu byenfuna, essiga eddamuzi, ebyobulamu, okutonderawo abantu emirimu okuyita mu kuzukusa ebyobulimi nebirala.

Agambye nti waliwo obwetaavu okuzza obwesige bwabantu egwanga likulemberewe, ngabantu buli omu awulira egwanga lilye era akwatibwako.

Ssekimpi ye muntu owokutaano okulangirira nga bwajja okwesimbawo ngeyasooka yali ptresidenti Museveni n’ekibiina kye ekya NRM, omubaka wa Kyandodo East Robert Kyakulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine, ssenkaggale wa DP Nobert Mao ne Morren Kyalya.