Amawulire

Omusango gwo’mulamuzi okulya enguzi bagujjeeyo

Ivan Ssenabulya

March 16th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah

File Photo: Kaliisoliso wa gavumenti Irene Mulyagonja

Kalisoliiso wa gavumenti omulamuzit  Irene Mulyagonja ajjeeyo emisdango ejibadde ku mulamuzi we ddaala erisooka e Nakawa Agnes Napiyo, egyokulya ekyoja mumiro.

Kino kibukuddwa mu maaso gomulamzui wa wansi mu kooti ewozesa abalyake Patricia Amoko amakya ga aleero, Diana Nantabaazi abadde akiridde IGG bwategezeza nti yawereddwa ebbaluwa eyawandikibwa nga 7th March 2018, ngera teyawereddwa nsonga lwaki omusango guno basazeewo okujjayo.

Nga 25th January 2018 omulamuzi Patricia Amoko yalagira kalisoliiso ne munnamateeka w’omuvunanwa Denis Nyombi, olwaleero okujja bakanyizza kye nkomeredde ku musango guno.

Omulamuzi yali yemulugunya ku ludda oluwawabirwa okwekwansanga bwebatanaweebwa katambi akaliko obujulizi, obwali bulaga ngomulamuzi we Nakawa akwata enguzi.

Napiyo abadde avunanibwa kukozesa bukyamu wofiisi ye, bweyakirzza okukwata ensimbi emitwalo 70 ngenguzi okuva ku Vicent Egesa okukyusa ensala yomusango.

Emisangi kigambibwa nti ono yajizza wakati wa 2nd March ne 8th April wa 2017 e Nakawa ku Bonjour Supermarket, okulinaana Total.