Amawulire

Omusango gwa Radio gwongezedwayo

Omusango gwa Radio gwongezedwayo

Ivan Ssenabulya

September 10th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah, Okuwulira omusango Godfrey Wamala amannyidwa nga Troy mw’avunanibwa okuba ne kobaane okutemula eyali omuyimbi nnakinku  Mowzey Radio kuzeemu olwaleero mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu etuula e  Entebbe,n’omujulizi ow’oludda oluwaabi ow’omwenda.

George Egesa omutuuze w’e Kawuku  nga yenanyini bbaala eya Debar ewagambibwa okuba nga omugenzi gyeyasanga abamukuba mu January 22nd 2018  ategezeza ng’omukyala ategerekesse nga Pamela Musimire bweyajja mu bbaalaye naamutegeeza nga bwe waliwo seleebu eyali agenda okujja  mu bbaala nga nakataayi tekasaala Mowzey Radio natuuka.

Ono era ategeezza nga Radio bweyatuuka mu bbaala nagyayo emitwalo 100,000 nagisa ku mmeeza bwatyo n’asaba  Egesa okumugulira omwenge okusaba kweyagaana olw’ensonga nti teyalina ssente.

Ono ayongeddeko nga Radio bweyatandiika okuyiwa omwenge mu gilaasi omulala naguyiira Egesa n’abantu abalala nga kwekuli ne Troy avananibwa okubanga yeyakuba Radio.

Egesa anyonyodde nga bweyasaba Pamela okufulumya  Radio, olwo ye nagenda mu kiyigo okwelongosaako nga mu kuddwa yategezebwa nga bwe waliiwo okulwana era teyalaba yakuba Radio.

Okuwulira omusango guno kwongezedwayo okutuusa nga 24th omwezi guno

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *