Amawulire

Omusango gwa Kabuleta gw’ongezedwayo

Omusango gwa Kabuleta gw’ongezedwayo

Ivan Ssenabulya

June 30th, 2020

No comments

Bya Ruth Anderah, Okuwulira omusango gwa munnamawulire eyaganyuka, Joseph Kabuleta mwayagalira kkooti eyimirize akalulu ka 2021 akali munkola eya sayansi tekugenze mu maaso olunaku olwaleero.

Kino kidiridde bannamateeka ba akakiiko ke byokulonda okutegeeza omulamuzi aguli mu mitambo Esther Nambayo nti ebbaluwa ebayita okwewozaako mu musango guno bagifunye kikerezi ne batasobola kulabikako

Omusango gwongezedwayo okutuuka nga 13th July enjuyi zombi wezisuubirwa okuba nti zetegese

Mu musango gweyaloopa mu kkooti enkulu Kabuleeta yasaba kkooti eyimirize akalulu okutuusa nga bannansi okwetoloola eggwanga lyonna bamaze okwebuzibwako era ayagala kkooti ewalirize gavumenti erangirire akaseera akakatyabaga eyongezeyo okulonda kisobozese bannansi okuwa endowooza zaabwe kungeri gye bagala okukulemberwamu.

Kabuleeta okuyita mu munnamateekawe Walyemera and company advocates ayagala akakiiko ke byokulonda kamenyewo entekateeka gyekafulumya enegobererwa mu kalulu ka 2021