Amawulire

Omusajja y’ekumyeko omuliro lwa mukazi

Omusajja y’ekumyeko omuliro lwa mukazi

Ivan Ssenabulya

January 14th, 2020

No comments

Bya Shamimu Nateebwa, Omusajja yetekedde omuliro bw’asanze mukyalawe n’omusiguze.

Omusajja ono ategerekeseeko lya Juma, nga wetwogerera anyiga biwundu oluvanyuma lw’okwesibira mu nnyumba nagiteekera omuliro.

Kigambibwa nti Juma yasanze omusiguze ne mukyala we nga beesa empiki z’omukwano ekyamutabudde, nalaba nga tagwanidde kusigala ku nsi enzibu bwetyo.

Bino bibadde Kamwokya mu Church Zone.

Ono abatuuze bebamutasizza, bwebamenye oluggi nebamujjayo.

Wabula omukyala n’omusiguze babadde badduse.