Amawulire
Omusajja omulala yekasuse okuva ku kizimbe
Omusajja omulala yekanyuze okuva kukzimbe kya Garden city neyekata ennume yekigwo- wabula natafa nga bwabadde eyagala.
Tutegeezeddwa nti omusajja avudde waggulu neyekatta ku motoka namba UAS 797K , nga eno ebadde esimbidwa mukifo kino
Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emirirraa Emiliano Kayima agambaye nti ono kuluno police tegenda kumusonyiwa, era nga agenda kuvunanibwa amangu dala nga yakawona
Kayima agamba nti ono bamutaddeko abaserikale abagenda okumukuumirako eriiso oluwona atwalibwe ku poliisi.