Amawulire

Omusajja e Mpigi asse Muganziwe mu bukambwe

Omusajja e Mpigi asse Muganziwe mu bukambwe

Ivan Ssenabulya

February 23rd, 2021

No comments

Bya Mbogo Sadat,

Ekikangabwa kigudde mu town y’e Mpigi omukuumi wa yafeesi z’ekitongole kya Umeme bw’atemyetemye muganziwe n’amutta.

Jacob Kule, 28 omukuumi ne kampuni eya Ultimate Security Limited y’atemyetemye Sharon Amollo, 24 ng’ono kigambibwa yavudde mu district y’e Oyam ku kyalo Odyeyo okujja okulaba ku bba.

Kigambibwa nti bandibanga baafunye obutakkanya Sharon n’atemwako emikono ebiri ogumu negusuulibwa ku yafeesi z’ekitongole ki Umeme mu town y’e Mpigi ate omulala negusuulibwa ewa Godwin Mumbere abadde akola Kule.

Poliisi y’e Mpigi ezze n’embwa enkonzi y’olusu neewunyiriza ku mukono ogubadde ku Umeme okukkakkana ng’embwa etuusizza bambega ku kazigo ka Jacob era okuggulawo, ekiwuduwudu kya Sharon kwebagudde.

Ayogerera police mu bitundu bye Katonga Lydia Tumushabe agambye ebitundu n’omubiri gw’omugenzi bitwaliddwa mu ggwanika mu ddwaliro ekkulu e Mulago nga yye omutemu yadduse dda era anonyezebwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *