Amawulire

Omusajja bamusse lwakubba bikopo byebinyebwa 4

Omusajja bamusse lwakubba bikopo byebinyebwa 4

Ivan Ssenabulya

June 24th, 2021

No comments

Bya Musasi Waffe

Ebbiina lyabatuuze, bakakanye ku musajja owemyaka 29 mu disitulikiti ye Oyam nebamutta, olwokubba ebikopo byebinyebwa.

Omugenzi ye Geoffrey Omara, ngabadde muuuze ku kyalo Barjai mu gombolola ye Iceme mu distulikiti ye Oyam.

Ono basoose kumulumiriza okubba ebinyebwa okuva mu maka g’omutuuze Ojok Awitong, oluvanyuma bamwetolodde nebatandika okumukuba.

Bamutidde mu kafo, okumpi nolusaalu lwe Awio ku luguudo oluva e Iceme okudda e Ngai.

Omowgezi wa poliisi mu North Kyoga Jimmy Patrick Okema, akaksizza okufa kwomusajja ono, nategeeza nti tebalina gwebakutte naye okunonyereza kugenda mu maaso.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *