Amawulire

Omusajja azirikidde mu kkooti naafiirawo

Omusajja azirikidde mu kkooti naafiirawo

Ivan Ssenabulya

September 9th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah, Entiisa ebutikidde ababadde mu kkooti y’e Makindye omusajja ow’emyaka 60 bwazirikidde mu kkooti naafa .

Omugenzi ategerekese nga Fragilo Kizito omutuuze w’e Kabalagala.

Kizito abadde awerekeddeko mukyalawe Rosemary Kizito mu kkooti e  Makindye gy’awerenemba n’emisango gy’okulwana.

Namukadde ono azirise mu kkooti munda mu maaso g’omulamuzi w’eddaala ely’okubiri John Robert Okipi era ng’ono aziriise oluvanyuma lwa mukyalawe okuyitibwa yewozeeko wakati w’omujjulizi abadde amulumirizza.

Omulambo gwe gutwalidwa mu gwanika lya KCCA okwongera okwekebejjebwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *