Amawulire

Omusajja atemyeko omwanawe omutwe-Kiruhura

Omusajja atemyeko omwanawe omutwe-Kiruhura

Ivan Ssenabulya

October 21st, 2019

No comments

Bya Juliet Nalwoga, Poliisi mu bitundu by’e Kazo, mu disitulikiti y’e Kiruhura eri ku muyiggo gw’omusajja Jonathan Magara agambibwa okutemako omutwe gw’omwana ow’emyaka 7 n’abulawo nagwo.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti obutemu buno bwakoledwa ku kyalo Kashongi  mu district ye Kiruhura omugenzi Ephraim Muzafura bweyabadde kyaliddeko Magara okumusaba batambulemu mu budde obw’akawungeezi.

Ekiwunduwundu ky’omwana ono kyalabidwa abatuuze nga ne gyebuli kati tebanamanya kigendererwa  kya musajja ono.

Mu kiseera kino Poliisi esabye abayinza okumanya Magara gye yekukumye bagyiyambeko okumukwata agulweko omusango gw’okutta omuntu

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *