Amawulire

Omusajja asse munne lwa mukazi

Omusajja asse munne lwa mukazi

Ivan Ssenabulya

August 26th, 2019

No comments

Bya Magembe Sabiiti, Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Kikuusi mu gombolola ye Madudu e Mubende omusajja bwavudde mu mbeera nakira musajja mune namukuba omuggo ogumuttidewo ng’amulanga ku mwagalira mukazi.

Attiddwa ye Alex Maniriho nga amusse ye Bitwahiki Federiki era ng’olumaze okukola ettemu lino nabulawo.

Okusinzira ku batuuze mu kitundu kino ababiri bano  baludde nga balina obutakanya  obwava ku  mukazi  Kimuhaye Clementina  ng’ono yafumbirwa maka ga Bitwahiki Federiko nazalayo abaana 3 ng’eno Alex Maniriho kati omugenzi gyeyamusigula namuzalamu abaana babiri.

Poliisi okuva e Mubende nga ekulembedwamu akulira okunonyereza ku buzzi bw’emisango Riter Basemera etuuse mu kifo awabadde ettemu lino nejjawo omulambo negutwalibwa mu ddwaliro lya Mubende Reginal referral Hospital okwekebejebwa nga n’okunonyereza bwekugenda maaso.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *