Amawulire

Omusajja asse mukyala we

Ali Mivule

September 24th, 2013

No comments

Man kills wife

Poliisi e Bukomansimbi eri ku muyiggo gw’omusajja asse mukyala we ng’amulanga bwenzi

Omugenzi ategerekese nga Joan Nakisekka omutuuze ku kyaalo Kabalungi e Bukomansimbi.

Omusajja ono Fred Segujja ow’emyaka 20 kigambibwa okuba nti akomyeewo ewaka nga mukyala we taliiwo era wano weyatandikidde

Ono yamulumbye gyeyabadde akyadde n’ejjambiya n’amutemateema

Akulira ekyaalo Kabalungi, Christopher Sekikubo agamba nti abafumbo bano baludde nga bayomba ku nsonga z’obwenz ng’omusajja agamba mukyala we yafunayo omusiguze.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino, Noah Sserunjoji agamba nti omukyala ono omulambo gwe gusangiddwaawo ebiwundu eby’amaanyi