Amawulire

Omusajja asse mukazi we olw’okuganza mulamu

Omusajja asse mukazi we olw’okuganza mulamu

Ivan Ssenabulya

February 12th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwoga

Poliisi mu disitulikiti ye Rubanda ebakanye n’omuyiggo ku musajja agambibwa okutta mukazi we namuziika, ngamulumiriza okuganza mulamu we.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Kigezi Elly agambye nti omugezi ye Alibina Tusimomwe ngabadde wamyaka 31 nga kigambibwa nti baawe Dismus Muhumuza yeyamusse era namuziika mu kimpukumpuku, nga kti omusajja aliira ku nsiko.

Ono abadde amulumiriza okuganza muganda we Viani Turyahebwa ngono abadde mulamu ri omugenzi.

Kati kitegezeddwa nti okumpi ne ntaana weyamuziise oluvanyuma lwokumutematema, basanzeewo entaana endala enkalu gyabadde ategese okuzikamu muganda we eyamwagalira omukazi.

Poliisi egamba nti omuyiggo ku musajja ono gugenda mu maaso.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *