Amawulire

Omusajja abby’essimu y’omusirikale

Omusajja abby’essimu y’omusirikale

Ivan Ssenabulya

October 10th, 2019

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Poliisi ye Iganga eriko omusajja owemyaka 22 gwegalidde, nga kigwmabibwa nti yafudde nkuyege tetya ssabo nabba essimu yomusirikale eyomu ngalo.

Omukwate kigambibwa nti yayingidde wofiisi yatwala okunonyereza ku buzzi bwemisango ku CPS e Iganga, nga yefudde ayagala okuyambibwa wabula oluvanyuma nabuuka ne ssimu yomusirikale eyekika kya Techno.

Omuddumizi wa poliisi mu district ye Iganga David Willis Ndaula agambye nti oluvanyuma omusirikale yanonyezza essimu ye nga tagiraba, kwekukwata omusajja ono nebamwaza.

Wano bamausanze ne ssimu ngajikukulidde, era yabatutte newuwe nga nayo Alaina ebintu ebiralala bingi ebigambibwa okubeera ebibbe.