Amawulire

Omunyakuzi w’essimu asimbiddwa mu kaguli

Omunyakuzi w’essimu asimbiddwa mu kaguli

Ivan Ssenabulya

May 22nd, 2020

No comments

Bya Ruth Anderah, Nekolera jange agambibwa okuba nti abadde yefudde mukoko mu kubba abantu b’e massajja amassimu kyadaki agombeddwamu obwala.

Lubwama Ivan myaka 19 asimbiddwa mu kkooti y’e makindye mu maaso g’omulamuzi Patience Ronah Tukundane amusomedde omusango n’agwegaana.

Kati Omuvubuka ono oluvanyuma lw’okwegaana emisango gy’omubbi bw’amassimu omulamuzi amusindise ku alimanda mu kkomera ly’e Kitalya ajira yebakayo okutuusa lockdown ya Covid 19 nga ewedde.

Kigambibwa ono essimu eyamukwasizza yakika kya samsung era nga yajibba nga January 28th 2020, okuva e Masajja Kibira ‘B’ zone Makindye Ssabagabo mu district ye Wakiso.

OLudda oluwaabi lugamba essimu eno yali ya Arima Moris nga ebalirirwamu obukadde bw’ensimbi za Uganda 2.5 million shillings.