Amawulire
Omuntu omu afiiridde mu lutalo olubadde olwókulwanira omuwala
Bya Abubaker Kirunda,
Omuntu omu afiiridde mu lutalo olubadde olwókulwanira omuwala.
Bino bibadde ku kyalo gana Bwigangane ekisangibwa mu gombolola ye Kasokwe mu disitulikiti eye Kaliro.
Omugenzi ategerekese nga Livingstone Kyakobere nga mutuuze we Bwigangane.
Okusinzira ku sentebe wekitundu kino Henry Wakaisuka, ono olumaze okuttibwa omulambo gusuuliddwa mu kisiko
Ono yalumbidwa ekibinja kya bavubuka mu makage nga bamunenya okwagala omuwala mukwano gwabwe gweyaganza edda, nómuwala kannaluzaala yasangibwa yatuuse dda ewamuganziwe omupya.
Poliisi etandise omuyigo ku batemu.