Amawulire

Omumyuka Wo’mukubiriza wa Palamenti Jacob Oulanya Alabudde kukye Kkomo ku Myaka

Ivan Ssenabulya

September 13th, 2017

No comments

Bya Sam Ssebuliba

Omumyuka womukubiriza wolukiiko lwe gwanga Jacob Oulanyah alabudde ababaka ba NRM abaseesa mu kyokujja ekkomo ku myaka egyomukulembeze we gwanga, ngagambye nti bwebinabakyukira nga bino byebabunya ngekiri bifunye okuwakanyizibwa okuva mu bantu, palamenti ssi yanavunanyizibwa.
Oulanyah okukola okulabula kuno, kidiridde omubaka wa munispaali eye Mukono Betty Nambooze, okuvaayo nabuuza obanga ddala ennongosererza mu ssemateeka ku kawayiro ake 102b zayanjuddwa olwebigambo ebyatandise okuyitingana.
Wano Oulanyah agambye nti, ensonga zino tezinayanjulwa mu lukiiko lwe gwanga lwe gwanga olukulu, era nalabula ababibungeesa babigendeko mpola.

Kakati abamu ku babaka abawakanya bino nabob agenda beyongera.
Abakiise bapalamenti abekibiina kya DP okuli omubaka we Mukono Betty Nambooze, owa Lubaga North Moses Kasibante nabo bavuddeyo okwogera ku bigambo bino.
Bano bagambye nti kino ssi kyekikulu ennyo ekyetaaga okuwa obudde, mu kaseera kano.

Ababaka ba palamenti abawakanya ekyokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga mu NRM, basabye bannadiini, nabakulembeze abe nonno okubegattako mu kulwanyisa, ekikolobero kyebaluka okukola ku ssemateeka we gwanga.
Bwabadde ngayanukula ku byatukiddwako olunnaku lwe ggulo mu kabondo kekibiina kya NRM, omubaka owa Kampala Central Muhamad Nsereko agambye nti wadde waliwo abolubttu abagala bino, naye abakulembeze abalala bangi gyebali abalina okuvaayo balwane masajja, tebasirika.
Agambye nti obumu bwetagisa nga bwegwali ku bbago lyobufumbo, nga bwekiiri nekubye ttaka.