Amawulire

Omulangira Nakibinge asabye ensimbi mu kujanjaba covid zongerwemu

Omulangira Nakibinge asabye ensimbi mu kujanjaba covid zongerwemu

Ivan Ssenabulya

July 31st, 2020

No comments

File Photo: Nakibinge nga yogeera

Bya Juliet Nalwoga, Jjajja w’obusiramu omulangira Kassim Nakibinge asabye gavumenti okwongera ensimbi mu kitongole kye byobulamu wakati mu kulwanyisa ekirwadde kya Covid-19.

Bino bibadde mu bubakabwe obwa Eih Ad Adha bwawadde okusinzira ku muzikiti e Kibuli

Wano wasinzidde nasaba bannauganda okwenyigira mu byobufuzi nga balonda abakulembeze abalina obusobozi mu kifo kyokudda mu kwemulugunya nga tebabakoledde

Atendereza eggye lye ggwanga erya UPDF okugya mu bantu eggye ekuuma byalo elibadde lyefudde ekirara mu kutulugunya bannauganda

Ate ku muzikiti gwa kampala mukadde omumyuka wa mufuti owokubiri Ali Waiswa, akubiriza abasiramu okunywerera ku nnono zobusiraamu