Amawulire

Omulangira Arnold Ssimbwa waakuterekebwa olwaleero

Omulangira Arnold Ssimbwa waakuterekebwa olwaleero

Ivan Ssenabulya

April 11th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Omulangira Arnold Ssimbwa agenda kuterekebwa olunnaku olwaleero, ku bijja byabajjajjaabe ku masiro gé Kasubi.

Omulangira yaseerera ku Lwokuna lwa ssabiiti ewedde mu ddwaliro e Nsambya, oluvanyuma lwokulwala amangu ddala.

Omulangira Ssimbwa mutabani wómulangira David Ggolooba muganda wa Ssabasajja kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11

okusinzira ku mawulire, Minisita w’ebyobuwangwa, ennono, embiri, olulimi n’ebyobulambuzi, Owek David Kiwalabye Male geyafulumizza.

Minisita Male, yakulembeddemu enteekateeka z’obwakabaka n’abenju y’omugenzi okumutereka.

Agambye nti omugenzi wakuterekebwa wakati mu kugoberera emitendera gyonna egy’obuwangwa n’ennono n’eddiini.

Olunaku lweggulo wategekedwawo okusabira omwoyo gw’omugenzi nga kwabadde ku lutiko e Namirembe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *